News
Akulira obusumba bwe Nansana Rev.George Wilson Nkonge atabukidde abantu abalowooza nti eby'obufuzi mulimu nga kino kiviriddeko bangi okukeera okulera engalo.
EYALI omuduumizi wa Poliisi mu bitundu by’eggwanga eby'enjawulo okuli Jinja Road, Butambala n’ewalala eyasangiddwa ng’afiiridde mu maka ge akwasizza abantu 4 okuli ne mukyala we.
OMUYIMBI dokita Jose Chameleone asabye abamwegomba okumukoppako okwagala Katonda n’okumutenderezanga.
SHEILAH Gashumba yeesozze ensiike y’okutabula emiziki.
Bamusigansimbi okuva e China bamaze okugitongoza era emirimu gyakukwajja essaawa yonna ...
Kalidinaali Emmanuel Wamala y’akulembedde bannaddiini okuweereza obubaka obukungubagira Paapa Francis.
Abaana 50 baabatiziddwa ku lutikko ya St. Paul’s Namirembe ng’eteekateeka z’okubatizza zaakulembeddwamu ddiini wa lutikko, Can. Dunstan Kiwanuka Mazinga ng’ayambibwako abaweereza abalala.
ABAMANYI eby’omukwano bakukubiriza okunaaza ku munno. Waliwoabatakikola kyokka bwe baba banaaba, abaagalwa baabwe babaawo era ne babalaba.Eriyo n’abeggalira mu kinaabiro obutalabwako!
Omukazi asambazze byonna ebyogerwa nti ye yavuddeko okufa kwa bba!
OMUTANDISI wa Kampala Yunivasite, Pulofeesa Badru Ddungu Kateregga asekeredde abagezaako okwagala okumutwalako Yunivaasite gye yeetandikira nti kikafuuwe era n’ayanjulira olukiiko lwa Yunivasite ...
Mu Busoga North , omuli Kaliro, Buyende, Kamuli ne Luuka, abaasaba, basabiddwa okugenda ku poliisi gye batwala okusaba kwabwe, batunuulire ku nkalala z'amannya ze batimbye oba kwe bali.
Some results have been hidden because they may be inaccessible to you
Show inaccessible results